1 Chronicles 26:12-19


12 aEbibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna. 13 bNe bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.
14 cAkalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya.
Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.
15 dAkalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.
16Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa.

Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.
17Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku,
ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku
ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku,
ne ku ggwanika babiri babiri.
18Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.

19 eEyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.
Copyright information for LugEEEE